1 Corinthians 8

Ebiweereddwayo eri bakatonda abalala

1 aKale ku nsonga ey’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala: tumanyi nti byonna tubitegeera. Naye okwerowooza nti tumanyi kuleeta okwekuluntaza naye okwagala kuzimba. 2 bOmuntu alowooza nti amanyi, aba alaga nga bw’atannamanya era nga bwe kimugwanira okumanya. 3 cNaye oyo ayagala Katonda amanyibwa Katonda.

4 dKale ku nsonga eno ey’okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala. 5 eWaliwo abayitibwa bakatonda abali mu ggulu ne ku nsi newaakubadde nga waliwo bakatonda bangi n’abaami bangi. 6 fKyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.

7 gKyokka kino abamu tebakimanyi. Obulamu bwabwe bwonna bwamanyiira okulowooza nti bakatonda abalala balamu ddala, era nga n’ebiweebwayo ebyo biweebwayo eri bakatonda ddala. Kaakano bwe balya emmere eyo eyonoona emyoyo gyabwe, kuba minafu, beeyonoona bokka. 8 hNaye emmere si yeetuleetera okusiimibwa Katonda. Bwe tutagirya tewaba kye tusubwa, era ne bwe tugirya terina kye twongerako.

9 iKyokka mwegendereze bwe muba mukozesa eddembe lyabwe eryo, si kulwa nga mwesittaza abo abanafu mu kukkiriza. 10Kubanga ggwe amanyi, singa omunafu mu kukkiriza akulaba ng’olya mu ssabo lya bakatonda abalala, ekyo tekirimugumya okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala. 11 jKale owooluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, azikirizibwe olw’okumanya kwo! 12 kNoolwekyo bwe mukola ekibi ku booluganda muba muleeta ekiwundu ku mwoyo gwabwe kubanga banafu, era muba mukola kibi eri Kristo. 13 lKale obanga kye ndya kyesittaza muganda wange, siryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.

Copyright information for LugEEEE